Omuyindi Baagoba Ku Ttaka E Mubende Bagugubye

0
745

Abatuuze abaagobwa ku byalo e 12 mu district y’e Mubende bagasimbaganye ne kabagoba, Abid Aram ssaako abakulembeze ba district eno ne bawanyisiganya ebisongovu. Amagye ne poliisi abanene bebatambudde nabo tebalemesezza batuuze kulangira poliisi, RDC n’abakulembeze abalala okwekobaana ne Aram ne babonoonera ebintu byabwe n’okubattira abantu baabwe.