Paalimenti Ewadde Ekiragiro ku Kasese

0
1164

Paalimenti elonze abantu bataano okuva mu bukiiko obwenjawulo okwegatta ku kakiiko kayo akakola ku by’okwerinda nensonga ez’omunda mu ggwanga okuddayo e Kasese bunnambiro banonyereze ku kuyiwa omusaayi okugenda mu maaso era mu bbanga lya ssabiiti bbiri zokka, banjulire Paalimenti byebaliba bazudde.
Mu buufu bwebumu, abamu ku babaka ba paalimenti baagala omusinga wa Rwenzururu ajjibwe mu kkomera wakiri akuumirwe awaka we nga enteseganya bwezigenda mu maaso okuzza emirembe mu kitundu.