Paalimenti Eyise Kayihura Ku By'e Kasese

0
1097

Paalimenti eyongedde okukambuwala ku kinyoolankoto ekyali e Kasese jjuuzi, bw’etumizza ssaabaduumizi wa police Gen Kale Kayihura, wamu n’omuduumizi w’amagye g’eggwanga Gen Edward Katumba Wamala bagende babitebye.Akakiiko ka paalimenti akavunanyizibwa ku by’okwerinda by’eggwanga ke kayise abakulu abo bombi.
Ababaka baagala abajaasi bannyonnyole akawonvu n’akagga ku nsonga z’e Kasese, n’ebikwekweto bye baakola omwafiira abantu nga bagenze okukwata Omusinga Charles Wesley Mumbere.