Poliisi Erigise Ab'e Kasokoso Emiggo

0
826

Poliisi eggyeyo n’agomu buto okugumbulula abatuuze b’e Bweyogerere – Kirinnya ababadde batwala okwemulugunya kwabwe mu paalimenti nga bawakanya entegeka za gavumenti ez’okubasengula ku ttaka.
Gavumenti etegese okusengula abantu abawerako ku byalo 7 ku ludda lw’e Kirinnya – Bweyogerere eyo, ng’ebitundu ebyo etegese okuyisaawo oluguudo lw’eggaali, oluguudo olupya olw’e Jinja n’omwalo, era yabawadde okutuuka nga 26 Dec okulyamuka.
Babadde batwala okwemulugunya kwabwe, police n’ebawewenyula emiggo giri gyennyini emiganda, ne bassaako kakokola tondeka nnyuma.