Ssaabasumba Lwanga Anenyezza Abaalumba Olubiri e Kasese

0
850

Ssabasumba we sazza ekulu erya Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga avumiridde ebikolwa ebyokuyiwa omusaayi nagamba nti bityoboola ekitibwa kya Katonda.
Sabasumba asinzidde mu kugulawo ennyumba ye sakaramentu nennyumba z’abakulu wano e Ntinda nagamba nti kyali kikyamu amagye okulumba olubiri namanyi gonna gebakozesa.