Ssente Z'abavubuka Zaakola -Bigirimana

0
653

Gavumenti etongozza enkola empya eneeyitwamu okuyamba abavubuka okwekulaakulanya, ng’eyongereza ku nsawo eyagunjibwawo eya Youth Livelihood Program.
Pius Bigirimana omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ekikula ky’abantu agambye nti ensawo eya Youth Livelihood program eyambye abavubuka bangi, era abagyogerera amafukuule beenonyeza byabwe.
Wabula alabudde abatonotono abakyagaanye okuzzaayo ensimbi nti ba kukwatibwa.