Ttiimu Ya Rugby Bagikulisizza

0
489

Nga balindirira tiimu y’eggwanga okukomawo olunaku lw’enkya okuva e South Africa gy’ebade yagenda okw’etaba mu mpaka za HSBC World Series e Dubai ne Capetown, ab’ekibiina ekitwala omuzannyo gwa Rugby mu gwanga ekya Uganda Rugby Union bagamba bamativu n’omutindo tiimu gw’eyayoleseza.
Wabula Yayiro Kasasa ng’ono yakulira akakiiko k’ebyekikugu mu kibiino kino agamba nti mulimu ensobi zebasuubira okugolola nga tebanagenda Hong Kong mu mwezi ogw’okuna.
Tiimu eno ekomawo lunaku lwankya ku saawa munaana ezokumakya.

More News