Tunoonya Bantu Baffe Gye Baabasibira

0
614

Akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu lukiiko lw’egwanga olukulu Winnie Kiiza akunze banakyewa abakazi nti bayambeko bana Kasese nga balambula amakomera agali mu bitundu byonna gyebava nekigendererwa ekyokuzuula wa gyebasibidde abakazi abakwatibwa okuva Kasese.
Winnie Kiiza agamba nti abakazi bangi bakwatibwa okuva mu lubiri lw’omusinga nga nabamu balabwako nga bambuddwa engoye naye Gavumenti tevaayo kubanyonyola wa gyebasibiddwa nga kati balina kwerwanako boka naboka.