UPDF Yaswalira Kasese – Babaka

0
686

Nga Uganda yeetegekera okwegatta ku nsi yonna okukuza olunaku olw’okulwanirira eddembe ly’obuntu enkya ku lw’omukaaga, ababaka ba paalimenti bavumiridde nnyo eggye ly’eggwanga erya UPDF olw’okutemera ettaka ku kitiibwa kye libadde nalyo mu maaso g’ensi.
Ababaka bagamba nti ekyakolebwa UPDF e Rwenzori jjuuzi, ne batta abantu ne batuuka n’okubambula, abalala ne babasiba emikono n’amagulu, byattattanye nnyo erinnya lya UPDF ly’ekoleredde ebbanga eddene.
Ababaka era bagugumbudde nnyo gavumenti okulemwa okwanja ekiwandiiko ekitongole ekinnyonnyola engeri gy’ekumyemu eddembe lya bannayuganda.