Abakozi Bakaaye, Bajeemedde Abacayina

0
1035

Abakelembera ggombolola y’e Kawempe bawaliriziddwa okuggala kampuni y’aba China ekola enguudo eya CHINA RAILWAY SEVENTH GROUP CO LTD oluvannyuma lw’abakozi okwekalakkasa nga bavumirira embeera embi mwebakolera emirimu.
Abakozi era balumiriza bakama baabwe okukaka abakazi omukwano ssaako omusaala ogutaweza na lubatu lwa ngalo sso nga n’ebikozesebwa mu mulimu gwabwe bya kkekwa.