Omulembe Guno: Akataala ka Munakutadooba Okamanyi

0
1431

Ebyafaayo biraga nti bajjajjaffe ekyeggulo baakiryanga enjuba egolooba okwewala okulya ebiwuka mu nzikiza anti tebaalinanga ttaala.
Emirembe bwegyagenda gikyuka nga n’obwongo bwongedde okubeesera, ne bayiiya ettaala ya munaku tadooba ekozesa olutambi n’amafuta.
Naye kati oyinza okutambula ebyalo nga nayo togirabyeko anti tekinologiya aleese bingi omuli amasannyalaze, n’endala ezikozesa amaanyi g’enjuba. Mu mulembe guno, Joyce Baagala atujjukiza tadooba.