Ekya Omusinga Mumbere Bukyakalubye

0
1348

Omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti ka bukadde bwa siringi za Uganda 200 ezitali za buliwo.
Abamweyimiridde Omukaaga okuli n’akulira oluuyi oluvuganya mu paalimenti, Winfred Kizza (Mp Kasese) nabo balagiddwa okusula obukadde bwa siringi za Uganda 100 nga nazo ssi zaabuliwo.
Abalala abamweyimiridde kuliko omubaka Robert Centenary, Harold Muhindo, William Nzoghu, Constatine Bwambaale.
Obumu ku bukwakkulizo obumusiddwako mulimu obutalinnya kigere Kasese ng’okwetaaya akoma mu Wakiso, Jinja ne Kampala.
Omusinga avunaanibwa emisango egisoba mu 60 nga gyonna gyekuusa ku ttemu, obubbi n’okulya mu nsi olukwe.
Wabula embeera ebadde ya bunkenke nnyo ebweru wa Kkooti olw’abaserikale abayiiriddwawo ekirowoozesezza abantu nti osanga wabaddewo enteekateeka ezo’okuddamu okumukwata nate.
Mumbere amaze emyezi ebiri ku alimanda bweyakwatibwa oluvannyuma lw’ekitta bantu ekyali mu Rwenzururu mu Musenene w’omwaka oguwedde.