Yahyah Jammeh Akkirizza Okulekula

0
1211

Oluvanyuma lw’okutekebwako akazito abadde omukulembeeze wa Gambia Yahaya Jameh apondoose nakiriza okuleka entebe ebadde emunyumira okuzaama.
Ono akakasiza nti kulw’obulungi bwensi Gambia tewali nsonga lwaki bayiwa omusaayi era bwatyo ateekateeka kumyumyula nguggu ave mu Gambia. Bannabyabufuzi ba kuno betwogeddeko nabo batugambye nti ekiri e Gambia kigguliddewo Africa Essuula empya.