Aba Rotaract Basiimye Emirimu Gya Ssebaana

0
1101

Oweek. John Ssebaana kizito y’omu ku bannayuganda abasuubuzi abaamannya ,bannabyamizannyo era bannabyabufuzi abagundiivu abakoze ebingi okuyitimula ensi yabwe.
Emyaka gye gyonna agiwaddeyo okukola obuteebalira, ate mu bulambulukufu obw’ekitalo era wano buli lwotuula okukulombojjera ebikwata ku ssebaana ono oyinsa okusulawo. Wano abamu webasaliddewo okumuwandiikako, ate n’okumusiima mu ngeri ezenjawulo.