Abaatereka Mu SACCO Baviiriddemu Awo

0
831

Wabaddewo obunkenke ku kitebe kya SACCO ekya Kakuuto Micro Finance abaterekayo ensimbi bwebakirumbye nga baagala bannyonnyolwe ensimbi zaabwe zebaterekayo gyeziraga. Omukozi omu yekka bwati asangiddwawo asanze akaseera akazibu okunnyonnyola bannyini nsimbi ababadde basazeewo okusula ku ka bbanka kano okutuusa ng’ensimbi zaabwe zibaweereddwa.