Ababaka Eby'e Kasese Bibasobedde, Bagamba Museveni Tayagaala Babimubuuze

0
998

Ababaka abatuula ku kakiiko akalondoola eby’okwerinda by’eggwanga woowulirira bino banyiivu bya nsusso era bwomutambaala oyinza okubuuka n’abalanguko, nga nno obusungu babuggya ku mukulembeze wa ggwanga Yoweri Kaguta Museveni okuyingira mu mirimu gyabwe.
Bano balumiriza omukulu okwekiika mu kunoonyereza kwabwe kwebaliko ku byali e Kasese omwafiira abantu abaasoba mu 60.
Minisita w’ekwerinda kuludda oluwabula gavumenti Gilbert Oulanya atugambye nti kirabika, waliwo olukwe olwekusifu olwokubalesa okwanjulira palaamenti ebyo byebakanonyerezaako mu kitta bantu kino.