Ab'e Rwenzururu Beetondedde Museveni

0
1132

Abakulembeze okuva mu Businga bwa Rwenzururu eggulo beesozze akafubo n’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni mu maka g’obwa Pulezidenti e Nakasero mwebaasinzidde okwetondera omukulembeze w’eggwanga ku ebyo ebyaliwo mu November w’omwaka oguwedde akasambattuko kalyoke kabalukewo mu bitundu ebyo akafiiramu abantu abawera e 100.
Abakulembeze bano bakkirizza nti ensobi zaakolebwa nti era abantu ab’olubatu beebawabya Omusinga wa Rwenzururu nga nabwekityo batwaala obuvunanyizibwa ku ebyo ebyaliwo era bwebatyo nebasaba omukulembeze w’eggwanga abaddiremu n’Omusinga Charles Wesley Mumbere ayimbulwe.

More News