Akakiiko ka UOC Kazzeemu Okulonda William Blick
Oluvanyuma lw’okwongerwa ekisanja eky’emyaka ena nga President w’akakiiko akawatwala Olympics mu ggwanga aka Uganda Olympic Committee, William Blick ategeezeza nti kati sawa ya kukola era ekisanja kino kigenda kuberamu emisomo mingi eri bannaby’amizannyo baabwe.