Alipoota Ya Ssaababalirizi Nkambwe

0
937

Ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti John Muwanga olwaleero ayanjulidde palamenti alipoota ey’omwaka 2015/16, wabula n’alaga obwennyamivu ku nsimbi gavumenti z’erina okusasula mu kuwangulwa emisango ezeeyongedde okutuuka ku buwumbi mukaaga n’ekitundu.
Muwanga era agamba nti obufere bweyongedde mu kusasula abakozi ab’empewo nga wano gavumenti efiirwa obuwumbi obusoba mu 11 buli mwaka.