Amasomero Agasoba mu 170 Gaggaddwa e Mukono, Abazadde Gabeesibye

0
1118

E Mukono abazadde bangi basigadde mugwebusami nemagazza, nga byonna biva ku kitongole ekitwala ebyengigiriza mu disitulikiti y’e Mukono okuggala amasomero agawerera ddala 176 lwa butaba na bisaanyizo bigakkiriza kukakkalabya mirimu gy’okuyigiriza abaana.
Atwala ebyenjigiriza e Mukono Vicente Baraza agamba nti bannannyini masomero gano bazze bajjukizibwa okukola ku mitendera gyonna egyetaagisa okuwandiisa amasomero gaabwe wabula nga tebafaayo olwo bbo kwe kugaggala era nga tegakkirizibwa kuggulawo ttaamu esooka etandika nga 6 omwezi ogujja.