Bano Emitima Gibakubira Mu Mitwe

0
968

Abatuuze ku mwalo e Lambu mu Ggombolola y’e Bukakatta bali mu kutya olw’abantu abatandise okusima emmeeri ebadde ekwatiridde ekkubo eribagatta ku Masaka.
Abakulembeze ku mwalo guno bagamba nti baafunye ebbaluwa eraga nti emmeeri zino azaakwata wansi mu ttaka zigenda kubambulwako bibaati ebibadde birakika waggulu naye ekibatiisizza kwe kulaba zitandise okusimizibwa okuviira ddala mu mazzi.