DFCU Kyaddaki Emize Crane Bank

0
723

Bbanka ya Uganda enkulu eguzizza DFCU Crane bank gyebadde emaze ebbanga ng’ekuuma oluvannyuma lw’okugiggya ku nnyiniyo, nagagga Sudhir Rupareria.
Abalondoola ebyenfuna bagamba nti DFCU edondodde. Kino oluwedde okulangirirwa, DFCU etandikiddewo okukakkalabya egya Crane bank ng’ebizimbe byayo ebimu bitandise okusigibwa langi za DFCU.