E Luuka Enjaala Abatuuze Ebasobedde

0
722

Ekyeya ekibeyenze ebitundu eby’enjawulo mu ggwanga kyandyeyongera okutabangula embeera singa gavumenti tevaayo n’eyamba bannansi oba Lugaba okubaddiramu.
Mu bitundu by’e Busoga naddala mu disitulikiti y’e Luuka, abaayo batandise okutunda byebalina basobola okugula ak’okuzza eri omumwa.
Wabula ate omujaasi akulira NAADs e Luuka afuuse kasobeza bwakawangamudde nti e Luuka abaayo bakabya kajanja.