Ebya Kavuma Musango Gwa Paalimenti

0
554

Ekibiina ekitaba bannamateeka mu ggwanga ki Uganda Law Society kiweze nga bwekigenda mu kkooti nga kiwakanya ekiragiro ekyayisiddwa amyuka wa ssaabalamuzi Steven Kavuma, nga ky’ekyavuddeko akacankalano mu palamenti ku Lwokubiri, era n’etuuka n’okuggalawo emirimu gyayo.
Wabula aba Uganda Law Society basekeredde palamenti olw’okumala gayisa amannya omukulembeze w’eggwanga g’abaweereza, kyebagamba nti ky’ekivaako ebizibu ebituuse n’okuggazaawo palamenti.