Kalungi Akyalina Suubi Okuyitibwa Ku Cranes

0
1018

Eyaliko omuzannyi wa Tiimu y’eggwanga the Cranes nga kati asamba ogwensimbi mu gwanga lya America Henry Kalungi ategezeza NBS nti newankubade amaze e banga nga tayitibwa ku tiimu y’eggwanga, akyalina suubi nti luliba olwo balidamu nebamuyita.
Kalungi nga yasemba okuzanyira tiimu y’eggwanga mu 2014 agamba nti Cranes ajagaliza buwanguzi mu mpaka za Africa Cup ezitandika omwezi guno.