Okugenda Mu Paalimenti Ya East Africa

0
1158

Abaagala okwesimbawo okukiikirira Uganda mu Paalamenti ya East Africa nga bagendera ku bendera ya NRM balabuddwa ku muzze gwokutandika okuperereza abalonzi okubayiira obululu nga akadde akatuufu akokusaba obululu, tekanatuuka.
Ate yo mu FDC bannakibiina 21 bamaze okugyayo empapula okulaga obwetaavu obw’okukwata bendera y’ekibiina mu kalulu kaabonna, ak’okukiika mu palamenti y’obuvanjuba. Mu FDC eno, okususunsula kutandika nkya.