Okulonda Kw'ebyalo Kwengedde

0
1351

Ababaka ba palamenti n’ebitongole byona ebikwatibwako kyadakyi bikiliziganyiza nti okulonda kwa bassentebe b’ebyalo wonna mu ggwanga kube kwa mwezi guno nga kugenda kuba kwa kusimba mu mugongo.
Ne minisitule y’ebyensimbi ekkirizza okwongera akakiiko k’ebyokulonda ensimbi okuva ku buwumbi 10 okudda kubuwumbi 15 naye ng’akakiiko kasigadde keemulugunya nti ensimbi zino tezimala.