Temutyoboola Mizikiti, Abasiramu Balabudde Gavumenti

0
1186

Ekitebe ky’obusiraamu ku kasozi Kampalamukadde kirabudde Gavumenti olwa basajja baayo okumala gayingira mu migiti nga tebagoberedde mateeka na nnono za busiraamu.
Ssabawandiisi w’olukiiko lw’obusiraamu, Haji Ramahan Mugau agamba nti wadde beetegefu okukolagana ne Gavt ssinga ebaako kyeyeekengedde mu muzigiti gwonna naye tebagenda kukkirizza kumala galumba mizigiti n’okwonoona ebintu byamu.