Temuyingiza 'Bigatto' Mu Mizigiti

0
1262

Ba maseeka mu bitundu by’obuvanjuba bw’egwanga balabudde ebitongole eby’okwerinda okukomya okumala gasalimbira mu mizikiti nga babatebereza okukuumayo abantu abakyaamu oba abamenyi b’amateeka.
Abakulu bano bagamba nti ssinga kino tekikoma kyandiretawo obutali butebenkebuvu mu gwanga kubanga kityoboola ekitiibwa ky’ediini y’obusiraamu n’olweekyo nga tebayinza kusirika busirisi
Bino babyogeredde mu lusirika olukulungudde enaku satu ku ttendekero lya Budaka Universal College mu district ye Budaka.