Abasawo B'eMityana Batwalibwa mu Kkooti, Alipoota Ebalumirizza Lwa Obulagajjavu

0
1011

Amaka g’obwa president gamalirizza enteekateeka z’okuwawaabira abasawo mu ddwaliro e Mityana ssaako akakiiko akataba abasawo olw’obulagajjavu obw’ekika ekyawaggulu obwaviirako nnakawere okufa.
Gavumenti egamba nti teyinza kukkiriza bikolwa nga bino kugenda mu maaso ate nga erwana munnayuganda afune ekimutwala mu ddwaliro.