Abaagalana Bagobolodde

0
1115

Buli nga 14 Feb amawanga kumpi mu nsi yonna gakuza olunaku luno olw’abaagalana era awamu luba lwa kuwummula.
Wano mu Uganda lwatandika kukyaaka mu gy’e 90.
Naffe wano ku NBS, twasalawo okunyikizza ensonga y’omukwaano mu kazannyo akawanguzza abalabi baffe ebirabo ebyenjawulo omuli ebimuli, n’emizinga gya wine, ssonga abalala bageenda kuwumulira ku Katomi Kingdom Resort Hotel ne Silver Springs Hotel okusobola okuyita mu lunaku obulungi era mu bifo ebirungi.