Lwaki Abayizi Abasinga Baggwa Ssayaansi?

0
470

Abakugu mu byenjigiriza baawukanye kunsonga eziviirako abayizi mu ggwanga Uganda okukola obubi amasomo ga Sayansi nga abamu bagamba nti ensasula embi emmalamu abasomesa amanyi olwo nebateefiirayo, ate abandi nga bagamba nti butafaayo bwa basomesa nabakulira amasomero kunsonga ya masomo ga sayaansi.
Newankubadde gavumenti etadde nnyo essira ku ssaayansi, naye abayizi bangi mu kibiina babuukayo nga banjala ngalo nga mpaawo kebakutte, nga kino kyeyolekera ku biva mu bigezo ebyakamalirizo.