Tanga Odoi Alabudde Watongola

0
1568

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu NRM Dr Tanga Odoi alabudde eyabadde omubaka wa munisipaali y’e Kamuli Hajat Rehema Watongola, nti tekamutanda n’addamu okwetaba mu kalulu ng’akozesa empapula ze ezitaawera ezaatuuse n’okumugobesa mu ppaalamenti.
Ye Watongola akyalemeddeko nti y’akutte bendera ya NRM era nga tewali ajja kumutiisa. Waliwo ebyogerwa nti mu mwezi guno, Watongola yafunye empapula z’obuyigirize empya.