UNEB Eyagala Kusiba Abasomesa Abakoppi

0
1226

Okubba ebigezo muze ogukula buli lukya newankubadde nga ekibiina ekitegeka ebigezo ebyakamalirizo mu ggwanga lyonna ekya UNEB kigezezzaako okugulwanyisa.
Amasomero ag’obwannanyini agatamanyiddwa nnyo gegakyasinze okwenyigira mu kikolwa kino nga n’okusingira ddala mbu ekiruubirirwa kyago kiba kya kutunda linnya okwongera okufuna abayizi.
Omusasi waffe alondodde ekiddirira amangu ddala nga ebigezo by’abayizi abateeberezebwa okubba ebibuuzo bikwatiddwa.