UNRA Egenda Kumenya Ebizimbe

0
677

Abantu abawerela ddala boolekede okufiirwa ebyabwe singa ekitongole ky’ebyenguudo ki UNRA kitandika okusa ekiragilo kyakyo eky’okuggua ebizimbe,obutale n’amasundiro g’amafuta agali mabbali g’enguudo ewamanyiddwa ennyo nga Road reserve.
Abaamu baatandise dda okunoonya gyebadda wabula ng’ate wakyaliwo abakyesisiggirizza abanaalinda ebimotoka bigunduuza balyoke baseeseetule ebyabwe.