Aba Tororo Cement Bibasobedde

0
1036

Minista w’abakozi Herbert Kabafunzaki agugumbudde abakulu ba kampuni enkozi ya cement eya Tororo Cement Factory olw’obulagajjavu eri abakozi baabwe ky’agamba nti ky’ekyaviirako n’akabenje akafiiramu 2 ku bakozi ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde.
Minisita kabafunzaki abategeezezza nga bw’atajja kulonzalonza kubaggalawo bwebaba nga tesobola kugoberera mateeka agafuga abakozi mu Uganda newankubadde nga balina abanene bebalina mu gavumenti bebeesigama ko okutulugunya abakozi.