Aba UCC Beezobye N'abatuuze E Luweero

0
926

Abakozi b’e kitongole ekirungamya ebyempuliziganya kata bakiguddeko bwebagenze okuwanulayo emizindaalo gya laadito y’ekyalo, abatuuze bwebabakutte amaataayi ne babalemesa.
Wakati mu nkuba ebadde efukumuka okukira okuggwa mu ttaka olutalo luyindidde ddala naye oluvannyuma UCC ebadde ewerekerwako poliisi ebasinzizza amaanyi.
Katemba ono abadde mu kifo ekimanyiddwa nga Meka mu kibuga Luweero.