Abadde Yeeyita Omupoliisi Akwatiddwa

0
425

Police y’ebidduka e Mukono eriko omusajja atawena gw’ekutte enkya ya leero nga yeefudde omusirikale wa traffic era ng’asangiddwa akakkalabya mirimu gye e Namuyenje ku luguddo oludda e Katosi ng’ali mu byambalo ebyefaananiriza ebya police y’ebidduka ebyeru ng’omuzira.
Okusinziira ku Moses Sonko aduumira police y’ebidduka e mukono omusajja ono atutte ebbanga nga yeerimbika mu bwa traffic n’asolooza ensimbi ku bantu ekintu, ekyongedde okuvumaganya erinnya lya police.