Abadde Yeeyita Wa Tulafiki Akubiddwa Amasasi

0
832

Police e Mukono eriko bakyalakimpadde babiri beyagudde mu buwufu nga beefudde abasirikale ba traffic era nga bano baalabiddwako nga bali mu byambalo bya police y’oku nguudo n’ebigambibwa okuba emmundu bbiri. Bano balabiddwako e Ntaawo mu kibuga Mukono, ku lugudo lw’e Jinja.
Olwakitegedde nti police eri mu kubalinya kagere, badusse mbiro nebeesogga ensiko yogaayoga nga omu akubiddwa essassi ku mukono, omulala nabomba.