Abakadde B'e Karamoja Basasuddwa

0
1079

Abakadde b’omu Karamoja kata bafe essanyu nga bagabana ensimbi zeegabira abakadde mu district ezitali zimu basobole okwebezaawo.
Abakadde bano bakira buli ava ku meeza y’abakulu abadde amwenya nga bagamba nti bawonye okulya amaluma ate ng’abalala bagamba nti zigenda kuggwera ku ndwadde ezibatawaanya.