Abakozi Ba Gavumenti Beedimye

0
980

Abakozi ba gavumenti mu bizinga ebikola disitulikiti ye Buvuma besudde mu jjulume ne bassa wansi ebikola nga entabwe eva ku gavumenti okubaggyako ensako eyongerwa ku musaala gwe bafuna olwo kukolera mu bffo ebizibu okutuukamu.
Bano bagamba nti bakolera mu mbeera mbi nyo eteeka obulamu bwabwe mumatigga nga ebbula lya mazzi amayonjo, entambula embi ,obutaba na masanyalazze nebira bingi ebibayamba mu bulamiu obwabulijjo ate nga obusente bwo musaala butono nga tebusobola kubabeeza wo nga bakola.