Abatalaba Beekalakaasizza Lwa Bayibuli

0
548

Bannayuganda abalina obulemu ku maaso n’abatalaba leero bakedde kutambula ku nguudo z’ekibuga Kampala nga basaba n’oluvannyuma nebeekalakaasa nga balaga obutali bumativu olw’abakulira amasinzo okwagala okubasubye eggulu nga babalemesa okusoma ekigambo kya Katonda.
Abatalaba bagamba nti bayibuli eyaabwe ddala yafulumizibwa wabula nga mu masinzizo mangi teriiyo so nga n’abagirina bagulayo mbalo, ekintu ekyenkanankana n’okusuula emisanvu mu kkubo erigenda mu ggulu eri abo abatalaba. Ekibiina ekisaasaanya bayibuli mu Uganda bano babaanukudde era omusasi waffe takulekeddeeyo