Alipoota Ku Masomero G'e Mubende

0
685

Abakugu mu byengiriza e Mubende bekokodde ekigoba bantu ku ttaka ekisusse mu kitundu kyebagamba nti kyekiviirako abayizi okugwa ebigezo naddala ebya PLE.
Okunoonyereza okwakolebwa abakulira ebyenjigiriza e Mubende kulaga nti abayizi batono nnyo abasomera mu ssomero erimu ne bamalako eky’omusanvu kuba abasinga kumpi babundabunda.