Eby'akatale ka Park Yard Biranze

0
561

Kakati ebya Paaka yaadi bituuse okufuuka namulanda n’okusinga ku mabere g’embwa anti abawebwa ebibanja ku kisawe kye Nakivubo nga balinako nebyapa, bagamba nti omugagga Ham tebagya mutunulira ng’abafiriza. Bano bakakasiza nti bagenda mu kooti okununula ebyabwe.