Ebyapa Minisita Alagidde Bikeberwe

0
1033

District ye Mubende wano mu Uganda yemu kwezo ezifumbekeeddemu enkayaana z’ettaka ng’abantu basindikirizibwa okuva ku ttaka entakera, nga nabamu bakozesa byapa bijingirire.
Kakati minister omubeezi avunanyizibwa kubyetaka Persis Namuganza afulumiza ekiragiro ebyapa byonna mu district eno bikeberebwe ebinazulibwa nga bikyamu bisazibwemu.