Emmundu Mu Ddwaliro, Abasawo N'abalwaddee Basatidde

0
610

Agava e Tororo waliwo eby’okulwanyisa ebizuuliddwa ku ddwaliro lya st. bennedict eye Hospital nga bino abalongoosa bebaguddeko.
Ababadde bayonja eddwaliro lino eby’okulwanyisa bino babisanze mu kkungaanyirizo lya kazambi olwo kwekutemya ku boobuyinza.
Mu by’okulwanyisa bino kuliko emmundu, amasasi, bbomu ezikasukibwa n’ebirala. Bikwasiddwa poliisi nga eriwamu n‘eggye lya UPDF.