Katikkiro Acoomedde Abakiise Mu Lukiiko

0
1461

Kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga acoomedde abakiise mu lukiiko lwa Buganda abatamanyi bigenda mu maaso mu bitongole by’Obwakabaka, nebatasobola na kulung’amya bannansi aboogera ebijweteke kunsonga za Buganda ezitali zimu.
Katikkiro abakiise era abajjukiza nti kibakakatako okweyisa obulungi kuba bangi babalabira mu kifaananyi kya Buganda nga na bwekityo tebasobola kwambala buziina.