Katuntu Alagidde Ministule Y'amateeka Enoonyerezebweko

0
1298

Kawefube wakakiiko ka palaamenti akakola ku ntambula y’emirimu mu bitongole bya gavumenti aka COSASE nga kekanoonyereza kubuwumbi omukaaga ezamafuta obwagabanibwa abanene azzeemu kigoye wezinge oluvanyuma lwa ssabalungamya wa gavumenti ku matteeka Francis Atooke okugana okwogera ebyaama ebikwata kunsimbi ziino.
Embera eno ewaliliza Ssentebe wakakiiko kano Abdu Katuntu okulagira Ssababalilizi webitabo bya gavumenti ataganjule ensaasaanya y’ebitabo mu minisitule y’ebyamateeka wakati wa 2010-2016 okuzuula ebitatambula bulungi ate oluvannyuma afulumye alipoota mu wiiki emu yokka.