Nambooze Acoomedde Mao Ne Banne

0
634

Wakati mu njawukana ezeetobese mu kibiina ky’ebyobufuzi era ekisinze okulwawo mu Uganda ki Democratic party, omuyimbi ow’erinnya Ronald Mayinza w’asaliddewo aveeyo bukuukuubira ayatule nti DP agyesozze nga nseenene mu kiteete.
Ye Omubaka wa munisipaali y’e Mukono Betty Nambooze naye ajeemedde pulezidenti wa DP Nobert Mao eyabadde amugaanye okukuba olukungana.