Omwana wo Tomugayaalirira, Muyigirize Eby'okukola – Budru Kigundu

0
544

Eyali ssentebe w’akakiiko kebyokulonda mu ggwanga Dr. Badru Kiggundu akubirizza abazadde okulaba nti batandika okusomesa abaana baabwe ebyobusuubuzi n’emirimu emilara egivaamu ssente nga bino balina kubisomesa abaana nga bakyali bato ate nga bali waka.
Bino Dr. Kiggundu abyogeredde ku mwoleso gw’ebyobusuubuzi eby’ejawulo ng’abaana ababadde batendekebwa byebabadde nga boolesa byebayize Nga mu bin mulimu okulunda enkoko, okutimba ku mikolo wamu n’ebya yintaneti.